1 Chronicles 21:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'awa Dawudi omuwendo gw'abantu: mu Yisirayeli yenna mwalimu abasajja akakadde kamu mu akasiriivu kamu abakwasi b'ekitala; ne mu Yuda yalina akasiriivu kamu mu emitwalo musanvu abasobola okukwata ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’ategeeza Dawudi omuwendo gw’abasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu n’emitwalo kkumi, ng’okwo kw’otadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'aleetera Dawudi omuwendo ogw'abantu ababalibwa. Abantu bonna aba Isiraeri baali kakadde mu kasiriivu (1,100,000). Abasajja abaali basobola okulwana, mu Yuda baali abasajja obusiriivu buna mu emitwalo musanvu (470,000) abasobola okulwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu n'aleetera Kabaka Dawudi omuwendo gw'abantu ogwabalibwa. Abasajja bonna mu Yisirayeli abasobola okulwana mu lutalo, baali akakadde kamu mu emitwalo kkumi, ne mu Buyudaaya baali emitwalo amakumi ana mu musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu n'aleetera Dawudi omuwendo ogw'abantu gwe baabalibwa. Abantu bonna aba Isiraeri baali kakadde mu kasiriivu abasajja abaasowolanga ebitala: ne Yuda baali abasajja obusiriivu buna mu obukumi musanvu abaasowolanga ebitala.