1 Chronicles 21:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yowabu teyabala ba mu bika bya Leevi ne Benyamiini, kubanga Yowabu ekiragiro kya kabaka yakyenyinyala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye teyabalirako Baleevi n’Ababenyamini, kubanga ekiragiro kya kabaka tekyasanyusa Yowaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ab'omu kika kya Leevi ne Benyamini teyababaliramu, kubanga ekigambo kya kabaka Yowaabu teyakisiima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olw'okuba nga Yowaabu ekiragiro kya Kabaka teyakisiima, ab'omu Bika ekya Leevi n'ekya Benyamiini teyababaliramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye teyassaako Leevi ne Benyamini: kubanga ekigambo kya kabaka kyamutama Yowaabu.