1 Chronicles 21:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo Dawudi n'agamba Omukama nti: “Nnyonoonye nnyo olwa kino kye nkoze. Nkwegayiridde, ggyawo ekibi ky'omuweereza wo, kubanga kye nkoze kya busiru nnyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekikolwa ekyo. Kaakano, nkusaba ogyewo obutali butuukirivu obw’omuddu wo, kubanga nkoze ekintu eky’obusirusiru ennyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo, kubanga nnakola ekigambo ekyo; naye kaakano, nkwegayiridde ggyawo obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nnakola eky'obusirusiru.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Katonda nti: “Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze. Naye kaakano nkwegayiridde, sonyiwa ekibi kyange nze omuweereza wo, kubanga nkoze kya busirusiru nnyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Katonda nti Nnyonoonye nnyo, kubanga nakola ekigambo ekyo: naye kaakano, nkwegayiridde, ggyawo obutali butuukirivu bwa muddu wo; kubanga nakola eky'obusirusiru bungi.