1 Chronicles 22:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba nti: “Kino Kiggwa kya Mukama Katonda, guno mwaliiro gwa kitambiro ekyokye olwa Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’ayogera nti, “Wano we wanaabeeranga ennyumba ya Mukama Katonda, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku lwa Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ayogera nti, “Eno ye nnyumba ya Mukama Katonda, era kino kye kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa eri Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba nti: Eno kye Kisulo Kya Mukama Katonda, era eno ye alutaari Abayisirayeli kwe banaayokeranga ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'ayogera nti Eno ye nnyumba ya Mukama Katonda, era kino kye kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa eri Isiraeri.