1 Chronicles 22:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo y'alizimbira erinnya lyange ennyumba; aliba mwana wange, nange ndiba kitaawe. Ndinyweza nnamulondo y'obwakabaka bwe ku Yisirayeli emirembe gyonna.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo ye alizimba ennyumba ku lw’erinnya lyange. Aliba mutabani wange, nange ndiba kitaawe. Era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe mu Isirayiri emirembe gyonna.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba; era anaabanga mwana wange, nange n'abanga kitaawe; era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe mu Isiraeri emirembe gyonna.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo ye alinzimbira Essinzizo. Aliba mwana wange, nze ne mba kitaawe. Era ndinyweza entebe y'obwakabaka bwe mu Yisirayeli emirembe gyonna.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba; era anaabanga mwana wange, nange naabanga kitaawe; era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ku Isiraeri emirembe gyonna.