1 Chronicles 22:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'otyo ebintu birikulamira, kasita olikuuma amateeka n'ebiragiro Omukama bye yawa Musa ku Yisirayeli. Guma, nywera, totya, totekemuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo onoolaba omukisa bw’oneekuumanga ebiragiro n’amateeka Mukama ge yawa Musa ku lwa Isirayiri. Beera n’amaanyi era gguma omwoyo, totya so totekemuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'otyo bw'onoolabanga omukisa, bw'oneekuumanga okukola amateeka n'ebiragiro, Mukama bye yakuutira Musa ebya Isiraeri. Ba n'amaanyi, ogume omwoyo, totya, so totekemuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'onoogonderanga Amateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa Yisirayeli ng'ayita mu Musa, ebintu byonna binaakugenderanga bulungi. Beera muvumu, ogume omwoyo, totya, era teweeraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'otyo bw'onoolabanga omukisa, bw'oneekuumanga okukola amateeka n'emisango, Mukama bye yakuutira Musa ebya Isiraeri: ba n'amaanyi ogume omwoyo; totya so totekemuka.