1 Chronicles 22:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mpise mu bugubi okutegeka ebyetaagibwa ku Kiggwa ky'Omukama: talenta za zaabu akasiriivu kamu, n'eza ffeeza akakadde kalamba; kyo ekikomo n'ekyuma tekuli kipimo olw'obungi; ko n'emiti n'amayinja. Naawe okwo kw'onooyongereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu kutegana okungi ntegekedde yeekaalu ya Mukama ttani eza zaabu enkumi ssatu mu bina mu ataano, ne ttani eza ffeeza emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bitaano; n’ebikomo n’ebyuma bingi nnyo ebitapimika muwendo gwabyo, n’embaawo n’amayinja. Ate okyayinza n’okwongerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba nno, nze mu kufuba kwange kwonna ntegekedde ennyumba ya Mukama talanta eza zaabu kasiriivu (100,000), ne talanta eza ffeeza kakadde (1,000,000), n'ebikomo n'ebyuma ebitapimika; kubanga bingi nnyo; era ntegese n'emiti n'amayinja; kw'ebyo naawe kw'olyongereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba nze nfubye nga bwe nsobola ne ntegekera Essinzizo talanta emitwalo kkumi eza zaabu, ne talanta akakadde kamu eza ffeeza, n'ekikomo n'ekyuma, ebitapimika olw'obungi bwayo. Era ntegese n'emiti n'amayinja. Naawe ku ebyo kw'olyongereza ebirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba nno, mu kubonyabonyezebwa kwange ntegekedde ennyumba ya Mukama talanta eza zaabu kasiriivu ne talanta eza ffeeza kakadde; n'ebikomo n'ebyuma ebitapimika; kubanga bingi nnyo: era n'emiti n'amayinja ntegese; oyongereko ggwe.