1 Chronicles 22:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olina abafundi nkumu abatabalika bungi: abaasa n'abakomozi b'amayinja, ababazzi n'abakugu mu buli kika kya mulimu
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olina abakozi bangi; abatemi b’amayinja, n’abazimbi, n’ababazzi, n’abantu bonna abalina obumanyirivu mu kuweesa
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era awamu naawe waliwo abakozi b'emirimu bangi nnyo, abayasa amayinja n'abo abagazimbisa, n'ababazzi, n'abantu abalala abalina amagezi n'obumanyirivu okukola emirimu egya buli ngeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era olinawo abakozi bangi nnyo: abayasa amayinja n'abo abagazimbisa, n'ababazzi, n'abalala abalina amagezi n'obumanyirivu okukola emirimu egya buli ngeri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate waliwo naawe abakozi b'emirimu bangi nnyo, abatema n'abakola emirimu egy'amayinja n'emiti, n'abantu bonna abalina amagezi ag'omulimu gwonna;