1 Chronicles 22:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Omukama Katonda wammwe tali nammwe? Tabawadde obuweerero ku njuyi zonna bannansi b'ensi ng'abawaayo mu mikono gyange, ensi n'egondera Omukama n'abantu be?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde okuwummula n’emirembe ku njuyi zonna? Agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange, era ensi ekkakkanye eri Mukama n’eri abantu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde mirembe enjuyi zonna? Kubanga agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange; era ensi ewanguddwa mu maaso ga Mukama, ne mu maaso g'abantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Katonda wammwe ali wamu nammwe, era abawadde emirembe ku njuyi zonna. Yansobozesa okuwangula abantu ababeera mu nsi eno, ne bagondera Mukama era nammwe abantu be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? era tabawadde mirembe enjuyi zonna? kubanga agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange; era ensi ewanguddwa mu maaso ga Mukama, ne mu maaso g'abantu be.