1 Chronicles 22:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emitima n'emyoyo gyammwe nno mugisse ku kunoonya Omukama Katonda wammwe. Musitukireemu muzimbe ekiggwa ky'Omukama Katonda wammwe, musobole okuyingiza Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama na byonna ebikozesebwa ebyawongerwa Katonda mu kiggwa ekinaazimbirwa erinnya ly'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano mumalirire mu mitima gyammwe ne mu mmeeme zammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe. Mutandike okuzimba awatukuvu wa Mukama, n’oluvannyuma muleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama, n’ebintu ebitukuvu ebya Katonda mu yeekaalu eneezimbibwa ku lw’erinnya lya Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale munyweze omutima gwammwe n'emmeeme yammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe; era musituke muzimbe ekigwa kya Mukama Katonda, mulyoke muleete essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'ebintu ebitukuvu ebya Katonda mubiyingize mu nnyumba egenda okuzimbirwa erinnya lya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano Mukama Katonda wammwe mumuweereze n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna. Musituke mutandike okuzimba Essinzizo, musobole okuteekamu Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, n'ebintu ebirala byonna ebitukuvu ebikozesebwa mu kumusinza, bibeerenga mu Ssinzizo erigenda okumuzimbirwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale munyweze omutima gwammwe n'emmeeme yammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe; kale mugolokoke muzimbe ekiggwa kya Mukama Katonda, okuleeta essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'ebintu ebitukuvu ebya Katonda okubiyingiza mu nnyumba egenda okuzimbirwa erinnya lya Mukama.