1 Chronicles 22:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yalagira bonna abataali bannansi ba mu Yisirayeli bakungibwe, n'alonda mu abo ab'okwasa amayinja bagabajje, Ekiggwa kya Katonda kizimbibwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu Isirayiri, era mu bo n’alondamu abatemi b’amayinja, bagabajje nga kuzimbisa nnyumba ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'alagira okukuŋŋaanya bannamawanga bonna abaali mu nsi ya Isiraeri; n'alondamu ab'okwasa amayinja n'okugakomola okuzimba ennyumba ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'alagira okukuŋŋaanya abagwira bonna abaali mu nsi ya Yisirayeli. N'alondamu, ab'okwasa amayinja n'okugakomola okuzimba Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu nsi ya Isiraeri; n'assaawo ab'amayinja okutema amayinja amabajje okuzimba ennyumba ya Katonda.