1 Chronicles 22:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi era n'ategeka ekyuma kingi okukola emisumaali gy'enzigi z'emiryango n'ebyokuyungisa; ekikomo kyali tekiteeberezeka buzito.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yateekawo ebyuma bingi olw’okukola emisumaali egy’enzigi egya wankaaki, n’olwebigatta, n’ebikomo bingi ebyayinga obungi n’obuzito.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ategeka ebyuma bingi eby'okuweesamu enninga n'enzigi ez'emizigo n'olw'ebigatta; n'ebikomo bingi ebitapimika;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ategeka ebyuma bingi eby'okuweesaamu emisumaali n'embaati eby'okugatta enzigi ez'emiryango eminene, n'eby'okuyunga ebintu eby'okukozesa mu kuzimba. N'ategeka n'ekikomo kingi, ekitaasobola na kupimibwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ategeka ebyuma bingi olw'enninga n'enzigi ez'emizigo n'olw'ebigatta; n'ebikomo bingi ebitapimika;