1 Chronicles 22:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Dawudi yali agambye nti: “Solomoni mutabani wange mwana muto, tannakakata; sso ng'ennyumba egenda okuzimbirwa Omukama esaanye okuba nga ya ttendo, ya linnya n'ekitiibwa mu mawanga gonna. Awo nno nzija kutegeka eby'okugikola.” Bwe kityo, nga tannafa, Dawudi n'ategeka byonna ebyetaagiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto n’obumanyirivu bwe butono. Ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey’ekitiibwa ekinene ennyo, ng’eyatiikirira era ng’etenderezebwa mu mawanga gonna. Noolwekyo nzija kuteekateeka ebinaagizimba.” Era Dawudi yakola entegeka nnene ddala nga tannaba kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto, n'ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey'ekitiibwa ekinene ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna; kyendiva ngitegekera.” Awo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannaba kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi yagamba nti: “Essinzizo erigenda okuzimbirwa Mukama ligwana okuba eryekitiibwa ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna. Naye mutabani wange Solomooni agenda okulizimba, akyali mwana muto, kyenva nditegekera eby'okulizimbisa.” Bw'atyo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayogera nti Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto, n’ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey'ekitiibwa ekinene ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna: kyendiva ngitegekera. Awo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannaba kufa.