1 Chronicles 22:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ayita mutabani we Solomoni, n'amulagira azimbire Omukama Katonda wa Yisirayeli ennyumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’ayita Sulemaani mutabani we n’amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ennyumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ayita Sulemaani mutabani we n'amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayita Solomooni mutabani we, n'amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayita Sulemaani mutabatii we n'amukuutira okuzimbira ennyumba Mukama Katonda wa Isiraeri.