1 Chronicles 22:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye ekigambo ky'Omukama kino ne kintuukako nti: ‘Wayiwa omusaayi mungi n'entalo walwana nnyingi; tojja kusobola kunzimbira nnyumba nga wayiwa omusaayi ku nsi mu maaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, ‘Oyiye omusaayi mungi, era olwanye entalo nnyingi. Tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oyiye omusaayi mungi mu maaso gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama n'antumira ekigambo kye nga agamba nti, ‘Wayiwa omusaayi mungi, n'olwana entalo nnyingi; tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga wayiwa omusaayi mungi ku nsi mu maaso gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Mukama n'aŋŋaana ng'agamba nti: ‘Walwana entalo nnyingi, n'otta abantu bangi. Kale olw'omusaayi omungi gwe wayiwa nga ndaba, tojja kunzimbira Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nti Wayiwa omusaayi mungi, n'olwana entalo enkulu: tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga wayiwa omusaayi mungi ku nsi mu maaso gange;