1 Chronicles 22:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omwana alikuzaalirwa, aliba musajja wa mirembe; ndimuwa obuweerero ku balabe be ku njuyi zonna; aliyitibwa Solomoni. Mu Yisirayeli ndimuwaamu emirembe n'obutebenkevu ebbanga lye lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, omwana owoobulenzi alizaalibwa gy’oli, era aliba omusajja ow’emirembe, ne muwa emirembe eri abalabe bonna enjuuyi zonna. Aliyitibwa Sulemaani. Ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu ku mulembe gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, olizaalirwa omwana ow'obulenzi, aliba omusajja ow'emirembe; era ndimuwa emirembe eri abalabe be bonna enjuyi zonna; kubanga erinnya lye aliyitibwa Sulemaani, era ndiwa emirembe n'okutereera eri Isiraeri ku mirembe gye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula olizaala omwana ow'obulenzi, aliba omuntu ow'emirembe, kubanga ndimuwa emirembe, n'ataba na balabe ku njuyi zonna. Erinnya lye aliba Solomooni, kubanga mu bufuzi bwe ndiwa Yisirayeli emirembe n'obutebenkevu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, olizaalirwa omwana wa bulenzi, aliba omusajja ow'emirembe; era ndimuwa emirembe eri abalabe be bonna enjuyi zonna: kubanga erinnya lye aliba Sulemaani, era ndiwa emirembe n'okutereera eri Isiraeri ku mirembe gye: