1 Chronicles 23:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakati ye yasooka, Ziza wa kubiri; bo Yewusi ne Beriya tebaalina batabani bangi, kye baava batwalibwa ng'ennyumba emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali owookubiri, naye Yewusi be Beriya tebaalina baana noolwekyo baabalibwa ng’ekika kimu era nga bakola omulimu gwe gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali ow'okubiri; naye Yewusi ne Beriya tebaalina baana bangi; kyebaava babalibwa ng'ennyumba emu eya bakitaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yahati ye yali omukulu, Ziiza ye yali owookubiri. Kyokka Yewusi ne Beriya tebaalina baana bangi, kyebaava babalibwa ng'ennyumba emu eyoobujjajja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali ow'okubiri: naye Yewusi ne Beriya tebaalina baana bangi; kyebaava babalirwa awamu okuba ennyumba ya bakitaabwe.