1 Chronicles 23:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Amuramu: Aroni ne Musa. Aroni, ye n'ezzadde lye, baayawulibwako emirembe gyonna baweerezenga ebitukuvu ennyo, batambirenga ebitambiro mu maaso g'Omukama, bamuweerezenga, era bawenga n'omukisa mu linnya lye ennaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Amulaamu baali Alooni ne Musa. Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri Mukama, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Amulaamu baali: Alooni ne Musa; Alooni n'ayawulibwa atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, ye ne batabani be emirembe gyonna, okwoterezanga obubaane mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Amuraamu: Arooni ne Musa. Arooni n'ayawulibwa n'abaana ab'obulenzi ab'ezzadde lye, okulabiriranga emirembe gyonna ebintu ebitukuvu ennyo, okwoterezanga Mukama obubaane, okumuweerezanga, n'okuwanga abantu omukisa mu linnya lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Amulaamu; Alooni ne Musa: Alooni n'ayawulibwa atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, ye ne batabani be emirembe gyonna, okwoterezanga obubaane mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.