1 Chronicles 23:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kyokka Eleyazari yafa nga talina baana ba bulenzi wabula ba buwala; Batabani ba Kisi, bannyinaabwe, ne babawasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriyazaali n’afa nga tazadde baana babulenzi wabula aboobuwala bokka. Baganda baabwe, batabani ba Kiisi be babawassa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eriyazaali n'afa, nga talina baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala abeereere; Bannyinaabwe batabani ba Kiisi ne babawasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eleyazaari n'afa nga talina baana ba bulenzi wabula ab'obuwala bokka, ne bafumbirwa bannyinaabwe batabani ba Kiisi, kitaabwe omuto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriyazaali n'afa, nga talina baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala beereere: baganda baabwe batabani ba Kiisi ne babafumbirwa.