1 Chronicles 23:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo be bazzukulu ba Leevi mu nnyumba za bajjajjaabwe, abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abaawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, buli omu okuva ku w'emyaka amakumi abiri n'okwambuka abaalina emirimu gy'okuweereza mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be baali batabani ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era nga be bakulira ennyumba ezo. Bonna abaabalibwa ku bo, omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo ne bawandiikibwa nga be b'okukola omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be b'omu Kika kya Leevi, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, era nga be bakulira ab'ennyumba ezo, omwali abasajja abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abaabalibwa kinnoomu, ne bawandiikibwa amannya gaabwe, nga be b'okukola omulimu ogw'okuweereza mu Ssinzizo kya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be baali batabani ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abo abaabalibwa ku bo mu muwendo gw'amannya ng'emitwe gyabwe bwe gyali, abaakola omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, abaakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo.