1 Chronicles 23:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okusinziira ku biragiro bya Dawudi ebyasembera ddala, bazzukulu ba Leevi bonna okuva ku w'emyaka abiri n'okusingawo, baabalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bagoberera ebigambo bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi abaabalibwa baali ba myaka amakumi abiri n’okusingawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu bigambo bya Dawudi eby'enkomerero yalagira abaana ba Leevi, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo be baba babalibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'ebyo Dawudi bye yasembyayo okulagira, Abaleevi abawezezza emyaka amakumi abiri oba okusingawo, be baawandiikibwanga ku nkalala z'abanaakolanga
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olw'ebigambo bya Dawudi eby'enkomerero abaana ba Leevi kyebaava babalibwa, abaakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo.