1 Chronicles 23:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulimu gw'Abaleevi gwa kuyamba ku batabani ba Aroni mu kuweereza mu Kiggwa ky'Omukama: okulabirira empya, ebigango, okuyonja buli kintu ekitukuvu, n'okukola emirimu emirala gyonna mu Kiggwa kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga batabani ba Alooni olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, mu mpya zaayo ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, gwe mulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omulimu ogw'okuyamba bakabona ab'olulyo lwa Arooni mu byonna ebikwata ku buweereza mu Ssinzizo kya Mukama Katonda: okulabirira empya zaalyo era n'ebisenge; okukuuma buli kintu ekitukuvu, kireme kujaajaamizibwa;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omulimu gwabwe kuweerezanga batabani ba Alooni olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, gwe mulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda;