1 Chronicles 23:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate buli ku kuweereza Omukama ebitambiro ebyokye ku Sabbaato, ku mbaga y'Okuboneka kw'Omwezi, ne ku mbaga enkulu eziragiddwa, ba kuweerezanga awatali kuyosaamu nga bagoberera omuwendo gwabwe ng'etteeka bwe ligamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa byonna eri Mukama, ku Ssabbiiti, n'emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo, omuwendo gwabyo ng'ekiragiro kyabyo bwe kiri, obutayosanga mu maaso ga Mukama:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'okuwangayo eri Mukama ebiweebwayo byonna ebyokebwa nga biramba, ku Sabbaato, ne ku buli kuboneka kwa Mwezi, ne ku nnaku endala enkulu ezaateekebwawo. Ebyo byonna Abaleevi baabikolanga mu maaso ga Mukama obutayosa, nga baweza omuwendo gwabyo nga bwe gwalagirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa byonna eri Mukama, ku ssabbiiti, n'emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo, omuwendo gwabyo ng'ekiragiro kyabyo bwe kiri, obutayosanga mu maaso ga Mukama: