1 Chronicles 23:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe babanga baweereza mu Kiggwa ky'Omukama, balabiriranga Weema ey'Ensisinkano, Ekifo Ekitukuvu ne baganda baabwe batabani ba Aroni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bakuumenga eweema ey'okusisinkanirangamu gye baateresebwa, n'ekifo ekitukuvu kye baateresebwa, n'ebyo batabani ba Alooni baganda baabwe bye baateresebwa, olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baakwasibwa okulabiriranga Eweema, n'Ekifo Ekitukuvu, nga bayamba ku baganda baabwe bakabona ab'olulyo lwa Arooni okuweerezanga mu Ssinzizo kya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)