1 Chronicles 23:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba nti: “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya ba kuluŋŋamyanga omulimu ogw'okuweereza mu Kiggwa ky'Omukama, ate kakaaga ba kubeera baami na balamuzi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate kakaaga banaabanga bakungu n’abalamuzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000), ba kulabirira mulimu gwa mu nnyumba ya Mukama; n'akakaaga (6,000), n'abawa gwa bwami n'akusalanga misango,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku abo, emitwalo ebiri mu enkumi nnya, kabaka n'abawa gwa mu Ssinzizo kya Mukama, akakaaga n'abawa gwa bwami n'obulamuzi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku abo obukumi bubiri mu enkumi nnya ba kulabirira mulimu gwa mu nnyumba ya Mukama; n'akakaaga baami n'abaasalanga emisango: