1 Chronicles 23:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
enkumi nnya ba kubeera baggazi, n'abalala enkumi nnya ba kuyimbiranga Mukama ku bivuga bye nakola okuyimbirako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga Mukama n’ebivuga bye nateekateeka ku lw’okutendereza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
enkumi nnya (4,000), n'abawa gwa buggazi; era nate enkumi nnya (4,000), n'abawa gwa kutenderezanga Mukama n'ebivuga kabaka bye yateekawo olw'omulimu ogwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
enkumi nnya gwa buggazi. N'abalala enkumi nnya n'abawa gwa kutenderezanga Mukama nga bakozesa ebivuga kabaka bye yateekawo olw'omulimu ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'enkumi nnya baggazi; era nate enkumi nnya baatenderezanga Mukama n'ebintu bye nnakola, bwe yayogera Dawudi, okutenderezanga nabyo.