1 Chronicles 24:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bye bisanja byabwe eby'emirimu lwe baayingira mu Kiggwa ky'Omukama, nga bagoberera entereeza eyabaweebwa Aroni jjajjaabwe ng'Omukama Katonda wa Yisirayeli bwe yali amulagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino bye byali ebisanja byabwe mu kuweereza kwabwe, okuyingiranga mu nnyumba ya Mukama ng'ekiragiro bwe kyali kye baaweebwa Alooni jjajjaabwe, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yali amulagidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo ye ngeri gye baatereezebwamu okujjanga mu Ssinzizo kya Mukama okukola omulimu gw'obuweereza bwabwe, obwabateerwawo jjajjaabwe Arooni, nga Mukama Katonda wa Yisirayeli bwe yamulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bino bye byali ebisanja byabwe mu kuweereza kwabwe, okuyingiranga mu nnyumba ya Mukama ng'ekiragiro bwe kyali kye baaweebwa mu mukono gwa Alooni jjajjaabwe, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yali amulagidde.