1 Chronicles 24:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nadabu ne Abiwu be baasooka kitaabwe okufa; tebaalina baana; Eleyazari ne Yitamari ne bakola nga bakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Nadabu ne Abiku ne basooka kitaabwe okufa nga tebalina baana; Eriyazaali ne Isamaali kyebaava bakola omulimu ogw'obwakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Nadabu ne Abihu be ne baasooka kitaabwe okufa, era baafa nga tebalina baana. Kale Eleyazaari ne Yitamaari ne ne baba bakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Nadabu ne Abiku ne basooka kitaabwe okufa nga tebalina baana: Eriyazaali ne Isamaali kyebaava bakola omulimu ogw'obwakabona.