1 Chronicles 24:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabo baakuba akalulu nga baganda baabwe bazzukulu ba Aroni bwe baakola mu maaso ga Dawudi kabaka ne Zadoki ne Akimeleki n'abakulu b'ennyumba za bakabona n'ez'Abaleevi eza bajjajjaabwe. Abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ne bato baabwe bonna baakuba akalulu kyenkanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu nga baganda baabwe batabani ba Alooni bwe bakola mu maaso ga Dawudi kabaka, ne Zadoki ne Akimereki; n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi; nga ennyumba za bakitaabwe ey'omukulu efaanana n'eya muganda we omuto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne bano ne bakola nga baganda baabwe abasibuka mu Arooni bwe baakola, buli mukulu wa nnyumba ya bajjajjaabwe ne muto we, ne bakuba obululu mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zaddooki ne Ahimeleki, n'ag'abakulu b'ennyumba za bakabona n'Abaleevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu nga baganda baabwe batabani ba Alooni mu maaso ga Dawudi kabaka, ne Zadoki ne Akimereki n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi; (ennyumba) za bakitaabwe ez'omukulu okufaanana eza muganda we omuto.