1 Chronicles 24:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bazzukulu ba Eleyazari mwasangibwamu abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe bangi okusinga abaasangibwa mu bazzukulu ba Yitamari; Olwo aba Eleyazari ne bayawulwamu ennyumba za bajjajjaabwe kkumi na mukaaga, n'aba Yitamari ennyumba za bajjajjaabwe munaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne walabika abasajja abakulu bangi ku batabani ba Eriyazaali, okusinga ab'oku batabani ba Isamaali; era bwe bati bwe baabawulamu: ku batabani ba Eriyazaali bayawulwamu ennyumba kkumi na mukaaga (16), nga be bakulu be nnyumba za bakitaabwe; ne ku batabani ba Isamaali, nabo bayawulibwamu ennyumba munaana (8) nga be bakulu be nnyumba za bakitaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu basibuka mu Eleyazaari mwasangibwamu abasajja abakulu bangi okusinga ku abo abasibuka mu Yitamaari. N'olwekyo abasibuka mu Eleyazaari ne baawulwamu ennyumba kkumi na mukaaga eza bajjajjaabwe, n'abasibuka mu Yitamaari ne baawulwamu ennyumba munaana eza bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne walabika abasajja abakulu ku batabani ba Eriyazaali bangi okusinga ab'oku batabani ba Isamaali; era bwe bati bwe baasalibwamu: ku batabani ba Eriyazaali kwaliko kkumi na mukaaga, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe; ne ku batabani ba Isamaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, munaana.