1 Chronicles 24:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebisanja byabwe byaweebwa ku kalulu awatali kyekubiira, kubanga wombi mu batabani ba Eleyazari ne mu ba Yitamari mwavaamu abaweereza b'omu Kifo Ekitukuvu, n'abaweereza mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okubanga waaliwo abakulira ekifo ekitukuvu, n'abakulira okusinza ku njuyi zombi; ku batabani ba Eriyazaali era ne ku batabani ba Isamaali; emirimu gyonna gyagabibwanga nga bakuba bululu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe waaliwo abakulira Essinzizo n'abakulira eby'okusinza ku njuyi zombi: olw'abasibuka mu Eleyazaari n'olw'abasibuka mu Yitamaari, emirimu gyonna gyagabibwanga nga bakuba bululu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bati bwe baasalibwamu na bululu, emitindo gyonna wamu; kubanga waaliwo abakulu ab'omu kifo ekitukuvu n'abakulu ba Katonda, ku batabani ba Eriyazaali era ne ku batabani ba Isamaali.