1 Chronicles 24:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Semaaya omuwandiisi, mutabani wa Netaneli Omuleevi, yawandiika amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n'ag'abakungu ne Zadoki kabona ne Akimeleki mutabani wa Abiyatari, n'ag'abakulu b'ennyumba za bakabona n'ez'Abaleevi eza bajjajjaabwe, ng'ennyumba emu eya bajjajjaabwe bw'eba eya Eleyazari, eddako eba ya Yitamari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Semaaya mutabani wa Nesaneeri omuwandiisi ow'oku Baleevi, n'abawandiikira mu maaso ga kabaka, n'abakungu ne Zadoki kabona ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali; ng'obukulu bw'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi bwe zaali; akalulu akamu nga kalonderwa ennyumba ya Eriyazaali, n'akalala n'ekalonderwa ennyumba ya Isamaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluwalo olumu lwalonderwanga ab'ennyumba emu ey'abasibuka mu Eleyazaari, n'olulala ne lulonderwa ab'ennyumba emu ey'abasibuka mu Yitamaari, Semaaya omuwandiisi era omu ku Baleevi, mutabani wa Netaneeli, n'abawandiikira mu maaso ga kabaka, n'abakungu, ne Zaddooki kabona, ne Ahimeleki mutabani wa Abiyataari, n'abakulu b'ennyumba za bajjajja ba bakabona n'Abaleevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Semaaya mutabani wa Nesaneri omuwandiisi ow'oku Baleevi, n'abawandiikira mu maaso ga kabaka b'abakulu ne Zadoki kabona ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi; ennyumba emu eya bakitaabwe ng'eronderwa Eriyazaali, n'endala ng'eronderwa Isamaali.