1 Chronicles 25:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'abagabe mu ggye ne balondako batabani ba Asafu ne Emani ne Yedutuni bakole omulimu gw'obulanzi nga balangira ku nnanga, ku ntongoli ne ku nsaazo. Luno lwe lukalala lw'abaweereza abaakolanga omulimu ogwo:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’abaduumizi b’eggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni okuweereza, n’okukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa. Olukalala lw’abasajja abaakolanga omulimu ogw’okuweereza okwo, lwali:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'abakulira eby'okusinza ne balonda batabani ba Asafu n'aba Kemani n'aba Yedusuni, ab'okulangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimbira ku nnanga, n'entongooli, n'ebitaasa: omuwendo gwabo abaakola omulimu ng'okuweereza kwabwe bwe kwali gwali bwe guti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'abakulira eby'okusinza ne balonda ku batabani ba Asafu n'aba Hemani n'aba Yedutuuni ab'okulangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimbira ku nnanga n'entongooli n'ebitaasa. Abaalondebwa okukola omulimu ogwo be bano:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Dawudi n'abaami b’eggye ne baawulira okuweereza okwo abamu ku batabani ba Asafu n'aba Kemani n'aba Yedusuni, ab'okulagula n'ennanga, n'entongooli, n'ebitaasa: n'omuwendo gwabo abaakola omulimu ng'okuweereza kwabwe bwe kwali gwali bwe guti: