1 Chronicles 25:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Yedutuni mu batabani be: Gedaliya, Zeri, Yesaaya, Kasabiya ne Mattitiya; gwe mukaaga, nga kitaabwe Yedutuni y'abatwala eyalangiranga ku nnanga ng'agulumiza n'okutendereza Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku batabani ba Yedusuni: Gedaliya, ne Zeri, ne Yesaya, ne Simeeyi, ne Kasabiya ne Mattisiya, be mukaaga awamu, nga bakulirwa kitaabwe Yedusuni, eyakolanga ogw’obunnabbi, nga bw’akuba n’ennanga nga beebaza n’okutendereza Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku ba Yedusuni; batabani be omukaaga be bano: Gedaliya ne Zeri ne Yesaya ne Simeeyi ne Kasabiya ne Mattisiya; nga bakulemberwa kitaabwe Yedusuni baalangiriranga obubaka bwa Mukama nga balina ennanga, baalagulanga nga beebaza era nga batendereza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ba Yedutuuni, batabani be mukaaga: Gedaliya ne Zeri, ne Yesaaya, ne Simeeyi, ne Hasabiya ne Mattitiya. Nga bakulemberwa kitaabwe oyo Yedutuuni, baalangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimba ennyimba ez'okumwebaza n'okumutendereza, nga bakubirako n'ennanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku Yedusuni: batabani ba Yedusuni; Gedaliya ne Zeri ne Yesaya ne Kasabiya ne Mattisiya, mukaaga; wansi w'emikono gya kitaabwe Yedusuni nga balina ennanga, abaalagulanga nga beebaza era nga batendereza Mukama.