1 Chronicles 25:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano bonna batabani ba Emani omulabi wa kabaka, nga Katonda bwe yasuubiza, agulumize Katonda n'eŋŋombe. Katonda yawa Emani abaana ab'obulenzi kkumi na bana, n'ab'obuwala basatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna baali baana ba Kemani nnabbi aweereza kabaka, abaamuweebwa olw’okusuubiza kwa Katonda, okuyimusanga erinnya lye. Katonda yamuwa abaana aboobulenzi kkumi na bana, n’aboobuwala basatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abo bonna baali batabani ba Kemani omulabi wa kabaka mu bigambo bya Katonda, eyayimusanga ejjembe lye. Katonda n'awa Kemani abaana ab'obulenzi kkumi na bana n'ab'obuwala basatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna baali batabani ba Hemani abamuweesa ekitiibwa. Hemani oyo ye yali omuwabuzi wa kabaka mu bifa ku Katonda. Katonda yawa Hemani oyo abaana ab'obulenzi kkumi na bana, n'aboobuwala basatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abo bonna baali batabani ba Kemani omulabi wa kabaka mu bigambo bya Katonda, okuyimusanga ejjembe. Katonda n'awa Kemani abaana ab'obulenzi kkumi na bana n'ab'obuwala basatu.