1 Chronicles 25:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano bonna kitaabwe ye yali abatwala mu kuyimba mu Kiggwa ky'Omukama; baali bagabanyiziddwa mu nsaazo, mu nnanga ku lw'emirimu gy'Ekiggwa kya Katonda. Asafu, Yedutuni ne Emani kabaka ye yali abatwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna baakulemberwanga bakitaabwe, okuyimbiranga mu nnyumba ya Mukama, n'ebitaasa, n'entongooli, n'ennanga, n'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda; nga kabaka bwe yabanga alagidde Asafu, Yedusuni, ne Kemani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna baakulemberwanga kitaabwe mu nnyimba ez'omu Ssinzizo lya Mukama nga bakuba ebitaasa n'entongooli n'ennanga mu mikolo egy'okusinza Katonda, nga kabaka bwe yabanga alagidde Asafu, Yedutuuni ne Hemani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna baabanga wansi w'emikono gya kitaabwe okuyimbiranga mu nnyumba ya Mukama, n'ebitaasa, n'entongooli, n'ennanga, olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda; Asafu, Yedusuni, ne Kemani nga bali wansi w'ekiragiro kya kabaka.