1 Chronicles 25:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baayigirizibwa okuyimba ennyimba z'Omukama ne bakuguka awamu ne baganda baabwe; baali bawera ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwendo gw’abo n’eŋŋanda zaabwe abatendekebwa ne bakuguka mu by’okuyimbira Mukama baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omuwendo gwabo wamu ne baganda baabwe abaayigirizibwa okuyimbira Mukama, bonna abalina amagezi, gwali bibiri mu kinaana mu munaana (288).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna wamu ne Baleevi bannaabwe abaali batendekeddwa mu kuyimbira Mukama, bonna awamu abaali bakuguse, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omuwendo gwabo wamu ne baganda baabwe abaayigirizibwa akuyimbira Mukama, bonna abalina amagezi, gwali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana.