1 Chronicles 26:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Kosa ow'omu ssiga lya Merari: Simuri omukulembeze – si ye yali omuggulanda, naye kitaawe yamussaayo ng'omukulembeze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kosa, omu ku bazzukulu ba Merali yalina abaana aboobulenzi nga Simuli ye mukulu, newaakubadde nga si ye yali omubereberye kitaawe yali amufudde omukulu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Kosa ow'oku baana ba Merali yalina abaana; ab'obulenzi be bano: Simuli ono kitaawe yamufuula omukulu newakubadde nga si ye mubereberye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku basibuka mu Merari, waaliwo Hosa. Yalina abaana ab'obulenzi be bano: Simuri, kitaawe gwe yafuula omukulu, newaakubadde nga si ye yali omuggulanda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Kosa ow'oku baana ba Merali yalina abaana; Simuli omukulu, (kubanga kitaawe yamufuula omukulu newakubadde nga si ye mubereberye;)