1 Chronicles 26:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebisanja by'abaggazi ebyo abakulu abaabikulemberanga be baabigereranga emirimu gyabyo egy'okuweereza mu Kiggwa ky'Omukama nga baganda baabwe nabo bwe baali bakoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empalo z'abaggazi zaali z'abo, abaayawulwangamu okusinziira ku bukulu bwabwe, nga baliko bye bateresebwa nga baganda baabwe, Abaleevi abaweererezanga mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaggazi baayawulwamu ebibinja ebyo, ne baweebwanga empalo ez'okuweereza mu Ssinzizo kya Mukama, nga bagoberera abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, nga bwe kyabanga ku Baleevi bannaabwe abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empalo z'abaggazi zaali z'abo, za basajja bakulu, nga baliko bye bateresebwa nga baganda baabwe, okuweererezanga mu nnyumba ya Mukama.