1 Chronicles 26:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akalulu ku mulyango gw'ebuvanjuba kaagwa ku Selemiya. Akalulu kaakubwa ku mutabani we Zakariya omubuulirizi omwesigwa ennyo, ne kamuwa omulyango gw'emambuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya. Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akalulu ak'ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya. Awo ne bakubira obululu Zekkaliya mutabani we, omuteesa ow'amagezi; akalulu ke ne kamulondera omulyango ogw'omu bukiikakkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akalulu ak'okukuuma omulyango ogw'ebuvanjuba ne kalonda Selemiya. Ne Zekariya mutabani we omuteesa ow'amagezi ne bamukubira akalulu, ne kamulondera omulyango ogw'omu bukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akalulu ak'ebuvanjuba ne kamugwako Seremiya. Awo ne bakubira obululu Zekkaliya mutabani we, omuteesa ow'amagezi; akalulu ke ne kamugwako ku bukiika obwa kkono.