1 Chronicles 26:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akalulu ku mulyango gw'ebugwanjuba ne ku mulyango Salleketi, oguli ku luguudo olwambuka, kaagwa ku Suppimu ne Kosa. Enkuuma y'abakuumi yategekebwa eti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa. Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Suppimu ne Kosa, ne baweebwa omulyango ogw'ebugwanjuba, n'omulyango Salekesi awaali olutindo olwambuka, nga abakuumi boolekera bakuumi bannaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Suppimu ne Hosa, ne baweebwa Omulyango ogw'Ebugwanjuba n'omulyango Salleketi, ku luguudo olwambuka, nga bakuuma batunuuliganye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Suppimu ne Kosa ebugwanjuba, awaali omulyango Salekesi awaali olutindo oluyambuka, abakuumi nga boolekera bakuumi bannaabwe.