1 Chronicles 26:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oludda olw'ebuvanjuba: Abaleevi mukaaga buli lunaku; oludda olw'emambuka: bana buli lunaku; oludda olw'emaserengeta: bana buli lunaku; ku ggwanika: babiri babiri;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku, ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku, ne ku ggwanika babiri babiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaleevi mukaaga baakumanga ku luuyi olw'ebuvanjuba, ne ku bukiikakkono buli lunaku bana, ku bukiikaddyo buli lunaku bana, n'ab'eggwanika babiri babiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oludda olw'ebuvanjuba lwakuumibwanga Abaleevi mukaaga buli lunaku, olw'ebukiikakkono bana, n'olw'obukiikaddyo bana buli lunaku, n'eggwanika babiri babiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaleevi mukaaga baali ku luuyi olw'ebuvanjuba, ku bukiika obwa kkono buli lunaku bana, ku bukiika obwa ddyo buli lunaku bana, n'ab'eggwanika babiri babiri.