1 Chronicles 26:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo ye ngabanyaamu y'abaggazi, bazzukulu ba Kora ne Merari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezo ze zaali empalo z'abaggazi; ku batabani b'Abakola ne ku batabani ba Merali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bye bibinja abaggazi, abasibuka mu Koora n'abasibuka mu Merari bye baagabanyizibwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezo ze zaali empalo z'abaggazi; ku batabani b'Abakola ne ku batabani ba Merali.