1 Chronicles 26:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi bannaabwe abalala baali ku nkuluze z'Ekiggwa kya Katonda, n'enkuluze z'ebintu ebiwongeddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w’amawanika g’ennyumba ya Katonda, era n’amawanika g’ebintu ebyawongebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w'amawanika g'ennyumba ya Katonda, era ow'amawanika gonna ag'ebintu ebyawongebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku Baleevi, Ahiha ye yali omukulu w'eggwanika ly'Essinzizo era ow'amaterekero g'ebintu ebiwongebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w'amawanika g'ennyumba ya Katonda, era w'amawanika g'ebintu ebyawongebwa.