1 Chronicles 26:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazzukulu ba Laadani ab'omu ssiga lya Gerusoni, abaali abakulu b'ennyumba za bajjajja ba Laadani ow'omu ssiga lya Gerusoni baali: Yekiyeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzukulu ba Ladani, abaali bazzukulu b’Abagerusoni mu Ladani, abaali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe nga be ba Yekyeri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ladani, omu ku batabani ba Gerusoni; yali jjajja we nnyumba nnyingi eziva mu b'Abagerusoni, ng'omwo mwotwalidde ne nnyumba ya Yekyeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'ezzadde lya Laadani, abasibuka mu Gerusooni nga bayita mu Laadani, abaali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ez'ab'olulyo lwa Laadani oyo Omugerusooni, baali Yehiyeeli,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Ladani; batabani b'Abagerusoni aba Ladani, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Ladani Omugerusoni; Yekyeri.