1 Chronicles 26:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganda be mu Eliyezeri: Rekabiya mutabani we, Yesaaya mutabani we, Yoramu mutabani we, Zikuri mutabani we, ne Selomiti mutabani we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baganda be okuva ku Eryeza nga be ba Lekabiya, ne Yesaya, ne Yolaamu, ne Zikuli ne Seromosi, bonna nga batabani be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sebweri yalina oluganda olusibuka mu Eryeza muganda wa Gerusoni. Eryeza ye yazaala Lekabiya, Lekabiya n'azaala Yesaya, Yesaya n'azaala Yolaamu, Yolaamu n'azaala Zikuli, Zikuli n'azaala Seromosi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sebweli oyo yalina oluganda ku basibuka mu Eliyezeeri muganda wa Gerusooni. Eliyezeeri ye yazaala Rehabiya, Rehabiya n'azaala Yesiya, Yesiya n'azaala Yoraamu, Yoraamu n'azaala Zikuri, Zikuri n'azaala Selomoti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baganda be; ku Eryeza ne kuva Lekabiya mutabani we, ne Yesaya mutabani we, ne Yolaamu mutabani we, ne Zikuli mutabani we, ne Seromosi mutabani we.