1 Chronicles 26:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebimu ku munyago ogwavanga mu ntabaalo baali babiwonzeeyo olw'okunyiriza Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebimu ku byanyagibwa mu ntalo babiwonga, ne babiwaayo okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku munyago gwe baanyaga mu ntalo kwe baggya bye bawonga olw'okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku munyago gwe baanyaganga mu ntalo, kwe baatoolanga okuwongera Mukama okukuuma Essinzizo mu mbeera ennungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku munyago gwe baanyaga mu ntalo kwe baggya okuwonga okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.