1 Chronicles 26:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ba Yizuwari: Kenaniya ne batabani be baaweebwa mirimu gy'ebweru w'Ekiggwa, nga baami na balamuzi mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku Bayizukaali, Kenaniya ne batabani be baaweebwa obuvunaanyizibwa ebweru wa yeekaalu, okuba abakungu era abalamuzi okufuganga Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu basibuka mu Bayizukali, Kenaniya ne batabani be ne baweebwa omulimu ogutali gwa mu nnyumba ya Mukama, wabula ogw'ofuganga Isiraeri, n'okuba abaami n'abalamuzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu basibuka mu Yizuhaari, Kenaniya ne batabani be baakwasibwa omulimu ogutali gwa mu Ssinzizo, wabula ogw'obufuzi mu Yisirayeli, okuba abaami n'abalamuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku Bayizukali, Kenaniya ne batabani be baafuganga Isiraeri olw'omulimu ogw'ebweru, okuba abaami n'abalamuzi.