1 Chronicles 26:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bazzukulu ba Keburoni: Kasabiya ne baganda be, awamu abasajja lukumi mu lusanvu abeesobola, be baalabiriranga emirimu gy'Omukama gyonna n'egya kabaka ebugwanjuba wa Yorudani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku Bakebbulooni, Kasabiya n’ab’eŋŋanda ze abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, baavunaanyizibwanga omulimu gwonna gwa Mukama, n’okuweereza kabaka, ku luuyi olw’ebugwanjuba emitala wa Yoludaani mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku Bakebbulooni, Kasabiya ne baganda be, abasajja abazira, lukumi mu lusanvu (1,700), be baalabiriranga Isiraeri emitala wa Yoludaani ku ludda ebugwanjuba, mu by'okusinza Mukama; n'olw'omulimu gwonna ogw'okuweereza kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu basibuka mu Heburooni, Hasabiya ne be yalinako oluganda abasajja lukumi mu lusanvu abazira, be baaweebwa omulimu ogw'okulabirira Yisirayeli mu kusinza Mukama, ne mu kuweereza kabaka emitala w'Omugga Yorudaani ku ludda olw'ebugwanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku Bakebbulooni, Kasabiya ne baganda be, abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, be baalabiriranga Isiraeri emitala wa Yoludaani ebugwanjuba; olw'omulimu gwonna ogwa Mukama n'olw'okuweereza kabaka.