1 Chronicles 26:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnyumba za bajjajjaabwe eza Keburoni Yeriya ye yali omukulu waabwe okusinziira ku bitabo by'endyo za bajjajjaabwe. Mu mwaka ogw'amakumi ana ogw'obwakabaka bwa Dawudi okubuuliriza kwakolebwa mu bitabo, abasajja abatabaazi ne basangibwa mu Yazeri mu Gileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Bakebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, okusinziira ku byafaayo eby’okuzaalibwa okw’ennyumba zaabwe. Mu mwaka ogw’amakumi ana Dawudi nga ye kabaka, ne waba okunoonyereza mu byafaayo, era ne mulabika mu Yazeri eky’e Gireyaadi abasajja abazira ng’Abakebbulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeriya ye yali omukulembeze w'abasibuka mu Bakebbulooni bonna, Abakebbulooni ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu nnyumba za bakitaabwe, nga bwe baali bawandiikiddwa. Mu mwaka ogw'ana nga Dawudi ye kabaka ne banoonyereza, ne wazuukawo mu bo abasajja ab'amaanyi abazira e Yazeri eky'e Gireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeriya ye yali omukulembeze w'abasibuka mu Heburooni bonna, nga bwe baali bawandiikiddwa nga bagoberera ennyumba za bajjajjaabwe. Mu mwaka ogw'amakumi ana nga Dawudi ye kabaka, ne wabaawo okunoonyereza ku bo. Ne wazuukawo mu bo, abasajja ab'amaanyi abazira e Yezeri mu kitundu ky'e Gileyaadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yeriya yali mukulu ku Bakebbulooni, ku Bakebbulooni kwe yali, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu (nnyumba) za bakitaabwe. Mu mwaka ogw'ana Dawudi kasookedde alya obwakabaka ne banoonyezebwa, ne mulabika mu bo abasajja ab'amaanyi abazira e Yazeri eky'e Gireyaadi.